John 15:18-27

18 a “Ensi bw’ebakyawanga mumanye nti yasooka kukyawa nze. 19 bSinga mubadde ba nsi, yandibaagadde, naye temuli ba nsi, kubanga nabalonda muve mu nsi, kyeva ebakyawa. 20 cMujjukire kye nabagamba nti, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Kale obanga Nze banjigganya era nammwe bagenda kubayigganyanga. Era obanga baagondera ebigambo byange n’ebyammwe balibigondera. 21 dEbyo byonna balibibakola ku lw’erinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi. 22 eSinga sajja ne njogera nabo tebandibadde na musango. Naye kaakano tebalina kya kwewolereza olw’ekibi kyabwe. 23Buli ankyawa aba akyawa ne Kitange. 24 fSinga saakola mirimu egitaakolebwa muntu yenna mu bo tebandibaddeko musango. Naye kaakano balabye emirimu egyo, n’okutukyawa ne batukyawa, Nze ne Kitange. 25 gEkyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, ‘Bankyayira bwereere.’

26 h “Kyokka mmwe ndibatumira Omubeezi okuva eri Kitange, Omwoyo ow’amazima ava eri Kitange era alibategeeza buli ekinfaako. 27 iEra nammwe mulinjulira, kubanga mubadde nange okuva ku lubereberye.”

Copyright information for LugEEEE